Maama ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro
    
     Added 16th August 2017
    
   
   
    OMUKAZI ayiiridde abaana be babiri amafuta n’abakumako omuliro ne 
batwalibwa mu ddwaaliro nga bataaawa, olwa bba obutamulekera ssente za 
ka mmeeza. 
   
  
Shirat Namatovu ,28 
ow’omu Koona Zooni e Kawempe yayiiridde mutabani we Milrez Okwengera 3, 
ne muwala we Swabulah Agutu 4, amafuta n’abakumako omuliro ng’obusungu 
bwavudde ku bba Benard Wandera obutamulekera ssente za ka mmeeza 
ez’okugula emmere.
Muliraanwa we, John Mugerwa yagambye nti
 yawulidde abaana nga bakaaba n’akokona oluggi kyokka omukyala n’agaana 
okuggulawo kwe kusamba oluggi n’asanga abaana nga bakumiddwako omuliro 
ng’engoye n’ebimu ku bitundu by’omubiri nga biyidde.
Yakubidde poliisi y’e Kawempe eyazze n’ebatwala mu ddwaaliro ate maama waabwe ne bamutwala mu kkomera.
Omukazi yalaajanye nga poliisi emutwala 
nti bba abadde amulekera 5,000/- buli lunaku ku luno teyamulekedde wadde
 ennusu nga talina kya kuliisa baana era mu busungu nga bamukaabirira 
kwe kubakumako omuliro
 
No comments:
Post a Comment